In SSUUBI FM NEWS TODAY Walukagga yefuulidde Samona
OMUYIMBI Mathias Walukagga yeefuulidde omugagga Samona bw’ategeezezza nga bw’atajja kwetaba mu kivvulu kye babadde bategese okubeeramu ne Samona e Nakivubo nga December 6.
Kino kinyiizizza abayambye okutabaganya Walukagga ne Samona ne bategeeza nti Walukagga bamusuubira okweyisa ng’omuntu omukulu aleme kubamalira budde ng’abazza emabega.
Omu ku beetaba mu nteeseganya za Walukagga ne Samona, Balamu yagambye nti Walukagga ne Samona bombi baamugaso nnyo eri eggwanga. N’olwekyo basuubirwa buli omu okuwa munne ekitiibwa n’okweyisa ng’aba-ntu abakulu kuba kaweefube w’okubatabaganya yeetabwamu abantu abeebitiibwa okuli ne Katikkiro wa Buganda.
Bino biddiridde Walukagga okukola ekivvulu ku Ssande e Bwaise mwe yayimbidde ennyimba ezisoomooza Samona n’alangirira nga bwe yamuwangudde kubanga Samona ye yatwala omusango mu kkooti ate ye yaguggyeyo.
Walukagga yafulumya ennyimba Tuleppuke ne Bwino w’omutembeeyi ezigambibwa nti zikoona Samona Ssaalongo Kasawuli ng’omuntu n’okwonoona bizinensi ye ey’ebizigo. Samona yawawaabira Walukagga nga kigambibwa nti yali akozesezza ennyimba ezo okumulyako obukadde 60, oba si ekyo azifulumye.
Katikkiro n’abantu abalala okuli abayimbi abatutumufu baasalawo okuyamba okuta-baganya enjuyi zombi ne zikola endagaano eyimiriza Walu-kagga okuwalampa Samona ate ne Samona aggyeyo emi-sango mu kkooti. Bakkaanya bategeke ebivvulu, Walukagga agende ku siteegi ne Samona alangirire (Walukagga) ng’ebizigo bya Samona bwe bitalina mutawaana.
Bobi Wine yagambye nti bwe yasomye mu Bukedde ku Lwokubiri nti Walukagga yasomoozezza Samona ng’ali e Bwaise. N’agamba: Walukagga yabyegaanyi nti tannasomooza Samona wabula yabadde yeebaza bawagizi be olw’omukwano gwe bamulaze mu kiseera ekizibu ne batuuka n’okugenda mu kkooti okumulaga obuwagizi ku lunaku lwe yavunaanibwa.
Bobi Wine yagambye: Walukagga era yantegeezezza nti oluvannyuma lw’okuteeka omukono ku ndagaano, amateeka gaba gamukwata ssinga adda ku musajja okumuvuma.
Kiringa nze (Bobi Wine) bwe nnayimba akayimba kange nga kalimu ebigambo ebijerega naye olw’okuba abantu bakimanyi nti tulina obutakkaanya ne Bebe Cool oba Chameleone, kyangu omuntu okugamba nti owulira bw’ayimba munne kale na kino bwe kyabadde naye nga tewaabadde kulumba kwonna era mu kiseera kino Samona ne Walukagga bali mu kukola bizinensi.
Sylver Kyagulanyi naye eyeetaba mu kutabaganya abayimbi bano yagambye: bwe kiba kituufu nga Walukagga yalumbye munne ekyo kikyamu kubanga bamaze ekiseera nga bagezaako okulaba ng’olutalo lukoma.
Maneja wa Eagles Product-ion, Musa Kavuma yagambye nti Walukagga yabadde tasomooza Samona kubanga ffe tumanyi nti kati bakwatagana bulungi era tetulowooza nti Walukagga asobola okulaga empisa ensiiwuufu zityo mu kaseera akatono kano.
“Ffe abali mu kisaawe ky’okuyimba tetwagala muta-waana gwonna wakati w’abantu bano era tetwandyagadde njuyi zombi kuddamu kulumbagana era ekyo tujja kukirwanyisa,” bwe yagambye.
Walukagga yategeezezza Bukedde: mu butuufu sirina bigambo bisomooza Samona bye nnayogedde. Kituufu nnafukamidde ne mbuuza abawagizi bange ng’ekigendererwa kwabadde kubeebaza.
Ekirala nnayagadde okuba-kakasa nti mu butuufu wadde nnafuna ebizibu era ne nsibwa naye ensonga ezansibya saazikola kuba kino ne bweyandibadde omulala yenna tasobola kwerumiriza era waakiri yeegaaana.
“Nze gwe baabadde baagala nzikirize nti bansibira kye saakola kubanga nange sirina bwe nnyiza kwegenderezaamu kwogera okukakasa kino nnabadde nnina okubagamba nti abandoopa era be baggyayo omusango ekitegeeza nti ssaasaba ssente yonna.
“Ekirala omuzannyo ogwo-gerwako nti nnaguzannye mu Samona, ndudde nga nguzannya n’ekibiina kyange okuva lwe nnafulumya oluyimba lwa Ekimansannaku olubuulirira abagagga obutaduulira baavu naye olw’okuba waliwo embeera ebaddewo abalabi balowooza nti nnumba Samona ekitali kituufu” bwe yannyonnyodde
N’agattako nti assa ekitiibwa mu ndagaano eyakoleddwa wakati we ne Samona eggya emisango mu Kkooti n’okuta enyimba ze. Kyokka ye tajja kuyimba mu kivvulu ekitegekebwa e Nakivubo kubanga ekivvulu kino tekiri mu ndagaano. Kibadde kitegekebwa mu buntu n’olwekyo ddembe lyange okukyetabamu oba okugaana.
Samona yategeezezza nti ekivvulu ky’e Nakivubo kyava mu kiteeso ekyaleetebwa abayimbi nti bategeke ekivvulu okuyamba ku Walukagga afune ssente oluvannyuma lw’ebizibu by’abaddemu. Bw’aba Walukagga tayagala kivvulu ekyo ne Samona takirinaako mutawaana. Ye ky’ayagala ye Walukagga okukola bizinensi ye kyokka nga tayingirira na za banne.



